Dan Magic agambye atya
Guno gw’akubye sigwe mbadde noonya
Naye k’ogukubye nze kanguzannyiremu
Sigusuubira kucaaka nnyo
Kubanga guno gwe nkubye sigwamirembe gyakati
Mbatutteko mugiri gi P.O. Box
Nga twalina ebiwala mwattu ebitiba bitya
Nga k’obigendako obubi obeera waakutya
Mbanyumiza omuwala gwe nayagala
Yabeeranga Kamwokya ku Community
Bamuyita Specioza Nantaba
Naye nayagala Spe nze ne nserebera
Bwakya lumu ye n’anjabulira
Nemwegayirira naye nga tabiwulira
Nga ku maviivi nfukamidde
Ng’olwo ndaba ebyange byonna biwedde, eh
Mu mwoyo nga nzenna nsiridde
Yaƞamba don’t worry eyo just first feeling

Specioza yankyaawa
Naye mu byaddala alinganga eyanyamba
Singa yali teyankyaawa
Sandisobodde funa mukazi ananzimba
Specioza wankyaawa
Naye muga Katonda mu ggulu gwe yanyamba
Singa wali tewankyaawa
Sandisobodde funa mukazi ananzimba

Naddamu okumulaba
Nga eyali Spe tosobola kumutegeera
Nekennyini teyetegeera
Ewa Jjajja Ibu mu Kimombasa eri eri wansi
Gye nasembayo omusanga
Mwana muwala yayiga n’okunywa kabanga
Tuli ne bataayi bange
Tuli mu swagger tunywa nabyaffe tuteredde
Yekazizza asembedde
Akutte n’entebe ssebo olwo naye akkalidde
Olwo ndowooza ng’alaba musaana
Ko nze gundi leka tonkuba bikadde
Nemusomera byonna kuva ku bya Jimmy
Wewanjagalira wali otukyanga ne Chagga
Baakumpisangako mu Short Pajero
Nze ne mbonaabona ekiro nga nkaabira pillow
Ne ngamba nti sikyalya lwa ggwe
N’oƞamba don’t worry eyo just first feeling

Kati nalaba ekkubo
Baali batuufu akugoba y’akulaga ekkubo
Bw’akulekawo gwe fuba kulaba ng’okola
Luliba olwo n’osisinkana asaanira embaga
Gwe manya nti omuntu bwakukyawa oba okalidde
Bwekaba nga obadde kataala ob’ozikidde
Bwakukyaawa n’olemerako oba wefudde na fala
Okwagala okkaka omukwano kikubya yala
Byantuukako luli mu biseera bya ‘aso’
Kyenva mbiyimbako mbabuuse baana bassebo
Gw’okaabira ng’amaze okukyaawa
Oyinza okusanga nga gw’abadde alina omukyaawa
N’olwekyo silika tokaaba
Nze gamba don’t worry eyo just first feeling

Chorus to fade

Download Mp3 Here

Advertisements