Bw’oba nga gw’olabirako muyaaye
Era naawe ofuuka muyaaye
Bwebaba ng’abakulembeze bayaaye
N’abatuuze bayaaye

Yazaalibwa mu kabuga ak’ebunaayira
N’akula n’empisa nga yetowaza
Nga buli taatawe ky’amugamba amugondera
Nga yamugamba nti ye takola byakikwangala
Nga yamugaana eby’okulwana
Nga bw’omukuba ettama
Akukyuusiza ddala
N’ayawukana nnyo ku bavubuka abalala
Nga yamugaana abawala enguuli n’enjaga
Teyamanya nti oluusi omwana w’omuntu
Byakugaana ate abikola
Taatawe baamukwata n’akawala
Nga batunda enjaga
Kati tekyali na taata gw’assaamu kitiibwa

Yafuuka muyaaye n’enjaaye kati aginywa
Ayogera luyaaye ne mu kiyaaye gy’asula
Abamuyita omuyaaye nti eby’ekiyaaye by’akola
Naye abayita bayaaye kuba tebakola bye babuulira

Olunaku lumu ng’enjuba enatera okugwa
Yasanga ekkanisa nga yonna enekaaneka
Bambi teyakimanya nti yali yakikwangala
Pasita yali muyaaye ng’anoonya z’amata
N’amuyigiriza okusiga n’okugaba
Nti amuwe ssente agende ayambe abadaagana
Bwe yafuna
Ssente n’aziwa pasita ayambe abanaku musomi yayiga
Musomesa yazimba kalina nga kyokka
Endiga ze zilya amaluma
Kati takyalina pasita gw’assaamu kitiibwa

Maamawe akaaba
Agamba mwana wange ebya taatawo biveeko
Okomewo gyendi eno
Bw’onokyuka
Ojja kufuuka taata omulungi ateesittaza baana
Bakuyigireko bingi nnyo
Ne Mukama bw’atyo
Agamba mwana wange bapasita abayaaye bangi
Naye n’abatuufu bangi nnyo
Olinga eyasimba ebinyeebwa
Nemumereramu ebiddoddo
Oyo pasita gwe wasanga
Yali kamyu kye yava akusiiwasiiwa

Wafuuka muyaaye n’enjaaye kati oginywa
Oyogera luyaaye ne mu kiyaaye gy’osula
Abakuyita omuyaaye nti eby’ekiyaaye by’okola
Kituufu nabo bayaaye kuba tebakola bye babuulira

Download Mp3 Here

 

Advertisements