Omuntu mulungi ku balala naye nze agaanye
Yefuula alumirirwa
Ne bw’aba wuwo bw’ofuna yafuuka enkonge
Ng’ate alemesa ebibyo
Omuntu mulungi ku balala naye nze agaanye
Yefuula alumirirwa
Ne bw’aba wuwo bw’ofuna yafuuka enkonge
Ng’ate alemesa ebibyo

Namuwa binene naye n’akatono akatabukidde
Amakubo g’enfuna yange kati agazibikidde oh
Ono gwe mbagamba
Yasala mutima n’agutunda
Nasigaza mutwe bye nafumba
Yagaayiza ku kyoto nze saalya
Omuntu muzibu
N’akatono k’ofisizza mu buzibu
Kajula musuula ddalu
Sirimba
Ayagala na kutta tasaaga
Ssebo ye takoowa
Ayagala bikolere ye n’alya
Kati buli luvannyuma lwa ddakiika omwami awera
Ye bameka abatuvudde maaso loga
Bwe kiriba kituuse ekiseera ngya kuguma
Ŋende oba ensi yammwe

Buli kye wagambanga nayamba
Sagaana
Nze bwe nakaabanga wagenda
Bwe waba okulya awo n’odda
Nakusuutanga aah
Nga gwe bw’onkongoola aah nedda
Nayagala ofune naye nga
Gwe njagaliza ye ate maggwa ganteekateekedde natuula
Ganfumita nasiima
Bannange omuntu kiki apaana
Ekimubagula n’ataama
Tewakyali muto kakabe akaana
Bwe kagalula ggyayo enkoona aah
Omuntu kiki apaana
Ekimubagula n’ataama
Tewakyali muto kakabe akaana
Bwe kagalula ggyayo enkoona
Olaba bagoba minya mu ssanja
Gye batafumba nva

Mbuuza nakukola ki kyogere mpulire Kasimba nkalu
Okwagala ondese obwana bwange bukule nga buli mu nnaku
Nakola buli kisoboka obulamu bwo bubeere nga buli mu ssanyu
Owera mbu olisala n’ensalo
Ofune ekka nga lingyera mu nsawo
Onsonsese ejjinja mu bulago
Gwe n’obutemu kirabika mwatta mukago
Kiki ekitutabangula bazzukulu ba Kaawa
Okulaba afunye ekirungi wenna n’otabuka
Emitima gy’adda mu nsawo tegikyatuli mu bifuba?
Abantu babojja bubozzi bafaanana emisota
Oba ng’onkyaaya
Oyagala nfe nga mpaala
Nze eyakwambusa eddaala
Onjiwa mu kifuba olunyata
Ooooohhh

Chorus to fade

Click Here to Download MP3

Advertisements