Bwe nakimanya nti ndi mu nsi nakaaba
Omuli emiranga
Omugagga n’omwavu etukaabya
Etudaaza
Okukola nkola nnyo
Mpambana nfune nange ku lupiiya
Seebaka mbeera njiriba n’embeera
Ntwale nange ku mata ewaka
Abaana banaalya ki?
Nga situtte yadde omugaati?
Eyo y’embeera n’anti
Nve mu ssubi nzimbe nange ku mabaati
Landiloodi asaba za renti
Ate nakawere asaba za buugi
Ne jajja mu kyalo yaŋŋambye
Ebintu bye mbitikke ku bbaasi
Lwakuba nkola mpambana

Nze nkola seebaka
Mpambana
Nkooye okulya entula
Mpambana
Ate n’obwavu bwantama
Mpambana
Mpambana seebaka
Oooh mpambana
Laba ggwe okola teweebaka
Mpambana
Okooye okulya entula
Mpambana
Ate n’obwavu obuwona
Mpambana
Pambana munywanyi
Oooh mpambana

Be nnyambye befuula!
N’eyali anjagala yakyuka!
Kati nze nkole ntya?
Baana bange batuuse okudaaga
Bengabanya ku kendya
Bo banjagaliza kukaaba!
Buno obulamu apaana
Nze atalina yadde annyamba
Singa no kale
Bampalana ne batantema mbale
Kati nkusaba Mukame ondabe
Onnyambe be mmanja bansasule
Ne byenkoze obilabye
Ne be nnyambye ne bankuba emigere
Abanfuuyira emirere
Bwe nvaayo ne bansika ebigere
Nga naye lwakuba nkola mpambana

Wadde ogamba kambite
Tolina ssuubi lyonna
Totya eyo y’embeera ya kati
(Y’embeera ya kati)
N’obufumbo bukulemye
Otunula kyamuli
Totya eyo y’embeera ya wano
(Y’embeera ya wano)
Gye wandisuubidde obuyambi
Boss akulaba kyamuli!
Totya eyo y’embeera ya kati
(Y’embeera ya kati)
Laba olumye n’ejjiiko
Mbu okola nnyo
Ofuna ntono nnyo
Totya eyo y’embeera ya wano
(Y’embeera ya wano)
Pambana
Nyiikira
Lubaale mbeera nga n’embiro kw’otadde
Wamma kanya kola

Mpambana
Mpambana
Mpambana
Oooh mpambana
Pambana
Mpambana
Nyiikira
Mpambana
Lubaale mbeera nga n’embiro kw’otadde
Mpambana
Wamma kanya kola
Oooh Mpambana

Submit Corrections

Click Here to Download Mp3

 

Advertisements